The United Church of Canada/L'Église Unie du CanadaTrouble reading this page? See our help page!
Tulina e ssannyu nti muli wano era tusuubira nti mujja kusaanga muffe, obubaka obujja okubaziimba mu myooyo, ekinavaamu enkolagana ennungi n’okubaseembeza eri Katonda.
E Kkanisa Engatte eya Canada y’emu ku mikutu egy’enzikiriza y’Ekikristaayo. Enzikiriza y’Ekikristaayo yatandikawo mu myaaka egisoba mu 2000 emabega n’abagoberezi ba Yesu, era n’ekulira mu maanyi oluvannyuma lw’okufa kwe n’okuzuukira kwe.
Obutakkaanya mu njigiriza ya teologiya n’enneyisa mu bukristaayo, kyaleetera Kkanisa okukutukamu ebiwayi bisatu ebiriwo kati. Byonna ebiwayi bino biri ku musiingi gw’obulamu, okufa, n’okuzuukira kwa Yesu n’abagoberezi be abasooka. Ekklezia Katolika yeesigama ku Mutume Petero, omu ku bayigirizwa ba Yesu, ne mukwataganya ne ba papa ab’ennaku zino. Kimanyiddwa nti Klezia Katolika yayawuka n’Ekkanisa y’Abasodokisi ku ntandikwa ya millennia ey’okubiri. Mu kyaasa eky’ekkumi n’omukaaga, Omusumba Martin Luther n’abamufaananya endowooza baava ku Klezia Katolika nebatandikawo enzikiriza y’EkiProtestaanti; era enzikiriza eno yalaba okukulaakulana mu nsi yonna.
Mu mwaaka1925, amakkanisa asatu ag’enzikiriza y’Abaprotestaanti, Abamethodist, aba Congregationalist, ne bibiri ku bisatu ku nzikiriza y’aba Presbyterian mu Canada beegatta okufuuka Ekkanisa Engatte eya Canada nga bayita mu Kikolwa kya Paliyameenti. Okukkaanya kwaabwe kuno kusangibwa mu kiwandiiko Ensibuko y’Obwegassi (Basis of Union). Ennono ez’ebyafaayo byaffe, n’enjogera yaffe “Nti ffena tubeere Bumu” bye biziimba Akabonero k’Ekkanisa Engatte; akabonero akakulu ennyo mu kanisa yaffe.
Okuva mu mwaaka1925, obuboondo bw’amakkanisa amalala buzze nga bwegatta ku Kkanisa Engatte eya Canada; era we twogerera kati, waliwo amakkanisa 3200 ag’Enzikiriza ya Kkanisa Engatte mu Canada. Ebyafaayo by’Ekkanisa Engatte binyonyola ku bitukwaatako n’ennono zaffe mu bujjuvu. Bijjira mu mitendera gy’ebiseera lwe byabaawo, okuviira ddala ku musiingi gwa Kkanisa Engatte eya Canada nga n’ensi Canada tenatongozebwaawo; era mulimu n’ebyafaayo ebikulu ennyo mu bulamu bw’Ekkanisa.
Nga amakanisa amalala, Ekanisa Engatte eya Canada yeesibidde ku musingi mu Katonda, Yesu ne Bayibuli. Naye nga engeri gyetutegeera Katonda, eneeyisa y’enzikiriza, n’ensoma ya Bayibuli byawufu; ng’era bwe biri ebyawufu mu nzikiriza enkristaayo endala.
Credo Empya (A New Creed) ne Oluyimba lw’okukiriza (A Song of Faith) (mu Luzungu) byatuukiriza emikutu gy’obukristaayo nga bwegitegeerwa mu Kanisa Engatte eya Canada. Ebisingawo bisangibwa mu Enzikiriza mu Bufuunze (Summary of Briefs) ne mu Biwandiiko Ebikulu eby’enzikiriza yaffe (Important Statements of our Doctrine).
Tulina amasakramentu abiri; Batismu ne kommunio, era nga goombi gafunibwa buli muntu owa buli myaaka. Tukkiriza abo abaabatizibwa ne mu nzikiriza enkristaayo endala.
Ekkanisa Engatte ekolera wamu n’amakanisa amalala buli lwekiba kisobose, wamu n’abantu ab’amadiini amalala mu Canada n’ensi yonna, okuwagira obwenkanya, emirembe, n’eddembe ly’obuntu.
Okukungaana kw’abantu awamu mu kukkiriza ye Kanisa.
Ekkanisa ekulemberwa omwawule asasulwa abagoberezi mu Kanisa. Abeera mukulembeze, muyigiriza ate era omutambizi. Abantu abalala, nga omukulu w’eby’enyiimba, abakubi b’ennaanga, abakozi b’omu ofiisi, abalabirizi, abasomesa, n’abalala, basasulwa oba bakolera bwerere.
Abaweereza bonna, nga n’omwawule mwagendede, basobola okuba abasajja oba abakazi, abawuulu oba ab’empeta. Essente ezisasula emisaala n’okuddukanya Kanisa ziva mu birabo ebya buli sabiiti. Era ebirabo bino biyamba okuddukanya emirimu gy’e Kanisa mu nsi yonna nga biyita mu nsako y’Abaminsane n’Obuweereza y’eggwaanga(Mission and Service Fund ).
Wadde nga Omwawule n’abaweereza balina emirimu egy’enkalakalira mu kanisa, abagoberezi balina obuvunaanyizibwa okuddukanya e kanisa yaabwe.
Osobola okuzuula e kanisa ekuliraanye ng’ogoberera omukutu guno ogwa intaneeti..
Buli Kanisa n’abantu baayo baabako engeri ey’enjawulo bwe baddukanyaamu Sande zaabwe okusiinziira ku mpisa oba obulombolombo bwaabwe. Naye ebimu ku bino wamanga bitera okubeera empisa y’abulijjo:
N’olweekyo, waliwo “ebituufu n’ebitali bituufu” mu neeyisa y’Ekkanisa Engatte; naye nga ekisiinga byonna kwe kubeerawo kwo.
Okukungaana n’okukolagana bintu bya muweendo nnyo mu bulamu bw’ekanisa. Amakanisa agasiinga galina emirimu gyosobal okwenyigiramu okusobola okusisinkana abantu, okukola emikwaano n’ebintu ebirala. Ebimu ku byo biri bweebiti:
N’olweekyo mu kanisa mulimu engeri nyiingi z’osobola okwenyigiriamu. Oyinza okwesaanga ng’olina entegeka ez’enjawulo ezisobola okututumula omulimu gw’ekanisa yo. Twaniriza endowooza yo. Gezaako ko!
Okumanya ebisingawo ku Kkanisa Engatte eya Canada n’oboondo bwaayo, genda ku mukut gwa intaneeti www.wondercafe.ca
gyojja okukubaganya ebirowoozo ebiziimba emyoyo; awatali ekyo, zuula e kanisa ekuli okuumpi. Kebera ne ku Wikipedia olabe nga omuntu w’ebweeru bwalaba Kkanisa Engatte eya Canada.